Katikkiro ng'ayogerako eri Bannamawulire nga tannasimbula okugenda mu Bungereza
Ttabamiruka ono atuumiddwa "Buganda Bumu European Convention" waakumala ennaku 3 era agenda kuyindira mu kibuga London nga 13,14 ne 15 omwezi guno.
Eno Katikkiro awerekeddwako ba Minisita n'Abaami ba Kabaka abalala.
Katikkiro Mayiga mu kwogerako eri Bannamawulire ng'asimbula, ategeezeza nti ttabamiruka ono agendererwamu okukumaakuma abantu ba Nnyinimu abawangaalira emitala w'amayanja, okubamanyisa ebifa okwaboobwe mu ngeri entongole, ate nabo okumanyisa abakulembeze mu Bwakabaka ebifa gye bali.
Ayongeddeko nti ttabamiruka ono era waakwongera okumanyisa n'okunnyikiza Ensonga Ssemasonga 5 mu bantu ba Buganda e Bulaaya okulaba nga batambulira wamu n'abali eka naddala mu lugendo lw'okuzza Buganda ku ntikko.
Abamu ku baminisita abamuwerekeddeko
Kamalabyonna agamba nti mu kusooka waliwo ttaabamiruka eyatongozebwa mu America era ono ayambye nnyo okunyweza obumu mu bantu ba Buganda abawangaalira eyo era bajjumbize nnyo mu nsonga z'Obwakabaka.
Mu mbeera eno ne ttabamiruka wa Buganda agenda okutongozebwa mu Bulaaya ajja kutambuzibwanga mu bibuga by'amawanga ga Bulaaya ag'enjawulo era nga omwaka guno asooseddwa London mu Bungereza.
Okwetabamu, nsaba weewandiise oba okugule tikiti.