Katikkiro nga ayogerako eri banamawulire
Munna Buddu, Katikkiro Charles Peter Mayiga aweze okufutiza Kyaggwe mu gw'akamalirizo e Namboole olw'omukaaga luno.
Mu Buganda wano tewali lwe tuyimirira, emirimu gya Kabaka gitambuzibwa mu mbeera zonna, kale ne mu kiseera nze n'Omumyuka wange Asooka, we tutabeereddeewo emirimu gibadde gigenda mu maaso.
Nneebaza Owek. Robert Waggwa Nsibirwa Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro abadde akuuma ekkakalabizo olw'emirimu emingi gy'akoze mu bbanga eryo, era ne Baminisita n'abaweereza bonna.
Katikkiro nga yebaza omumyukawe ow'okubiri
Kamalabyonna asinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire lwatuuzizza ku Bulange enkya ya leero olwetabiddwamu munna Kyaggwe era omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Omuk. Nantege Josephine, n'ategeeza nti buli asomoka Lwera aggya n'ekigendererwa eky'okubaako byatwala okubizza e Buddu omuli n'ebikopo by'Amasaza.
Awonno akoowodde ab'e Ggombolola mwazaalibwa Ssaabawaali Bukoto, Kyanamukaaka, Kkingo, Katwe Butego, Bukulula, beeyiwe e Namboole bajulire ebigambo byayogedde olwa leero.
Mu buufu bwe bumu akunze abe Kyaddondo ne Buweekula baggye bawagire Amasaza gaabwe nga galwanira ekifo ekyokusatu.
Akubirizza abantu okutambula nobwegendereza, beewale okuvugibwa omugoba anywedde omwenge, obutatuula waggulu ku butanda bw'e motoka kubanga Kabaka ayagala babeere balamu, beewale efujjo n'ebigambo ebiwemula, naye okusanyuka kwo kubeerewo mu kukuba Engoma, amazina, Vuvuzela, n'emirere.
Oweek Robert Wagwansibirwa n'oweek Isreal Kitooke Owamawulire
Kulwa banna Kyaggwe, Oweek. Robert Waggwa Nsibirwa, agambye nti kizibu okuwangula Kyaggwe olw'amannya g'ebyalo agaliyo, omuli; Namakomo, Ndwaddemutwe, Nywedde malwa, Nekooyedde, era nga bwebali abakunja, Buddu baakujikunja bagitwaleko e kikopo.
Ategeezezza nti baakolaganye ne Uganda Railway okutambuza buli munna Kyaggwe alina tikiti y'omupiira ku bwereere.
Omupiira ogw'akamalirizo gwa lwamukaaga luno nga 2 Museenene e Namboole.