Omuti ogwagudde
Katikkiro asabye Ssettendekero wa Kyambogo okusimba omuti omuggya gudde mu kifo ky'omuvule ogwagudde.
Okusaba kuno Katikkiro akuyisizza mu kiwandiiko kyawandiise ekiraga ebyafaayo by'omuti guno n'amakulu g'ekifo wegwasimbibwa.
Agambye nti omuti guno mukulu nnyo, kubanga okutondebwawo kw’ensi, Uganda, kwatandikira ku bbaluwa ya Muteesa.
Abaminsane baagobererwa abafuzi b’amatwale, era “Endagaano y’Obukuumi” eya 1894, Abangereza gye baakola ne Kabaka Mwanga (mutabani wa Muteesa I) gwe musingi okwazimbirwa Uganda gye tulaba kati.
Obwagagavu bw'omuti guno
Annyonnyodde nti olw’ebbaluwa ya Muteesa I, abasomesa abaasooka okujja be baminsane aba Church Missionary Society (Alexander Mackay) Abapolositante mu 1877; ate ba White Fathers (Fr.Lourdel ne Bro. Amans) Abakatoliki mu 1879.
Ebbaluwa Kabaka Muteesa I yagiwandiikira wansi w’omuti ogwo ogwagudde.
Wano waasabidde abaddukanya Ssettendekero wa Kyambogo basimbe omuti omuggya, ate n’ekifo kirambibwe, era ebyafaayo byakyo birambikibwe bulungi.