Katikkiro nga akwasa abawanguzi ekikopo.
Katikkiro asisinkanye abavubuka ba Buganda abali mu matendekero ag'enjawulo mu bitundu bye Acholi, n'abakubiriza okunywerera ku bwangwa bwabwe.
Ensisinkano ebadde ku Gulu University nga yetabiddwamu amatendekero okuva e Gulu, Lira, Pakwach, Soroti, Bugishu n'awalala.
Mu bubaka bwe, Katikkiro abasabye Bakolagane bulungi n'abantu be babeeramu, beeyise bulungi, bayige olulimi, basse ekitiibwa mu mpisa z'Abacholi.
Asabye abayizi bakole ebyabatwala e Gulu naddala okusoma ebitabo bamaleko, bakimanye nti bwebasoma tebalina gwebayamba wabula beeyamba bokka.
Agambye nti ayagala obuyigirize bubayambe okwongera okutegeera obuwangwa n’ennono zaffe. Saagala obuyigirize bubafuukire enkonge olwebyo bye mukkiririzaamu kubanga abe Bulaaya baayagala nnyo batussemu endowooza zaabwe batuggye ku zaffe. Yade obuwangwa bwaffe bwagala okubaako byetutereezaamu n'okukyuusa nabyo tujja kubitereeza olw'obwetaavu bwetufunye nga twongedde okutegeera okusinziira ku byetuba tuyize.
Ategeezezza nti obuyigirize bwe bukujja ku buwangwa bwo n'abantu bo, n'ennono zo, obwo buyigirize buba bufudde togge, era bwetunaayigirizibwa obuyigirize nebutuyamba okwongera okutegeera nokwenyumiriza mu buwangwa, olwo obununuzi bwa Africa obwa nnamaddala bujja kuba butuuse.
Twagala nnyo abavubuka abali mu ttendekero eno balye obukulembeze, kubanga awatali bukulembeze tewaba kugenda mu maaso.
Ye Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone, Oweek Robert Sserwanga Saalongo, asabye abavubuka okubeera nga bagasa yonna gyebabeera, n'asaba abakulembeze okukulembera n'ebyokulabirako abalala byebasobola okubayigirako.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga z'Abantu ba Buganda ebweru wa Buganda, Oweek Joseph Kawuki, omukolo naye agwetabyeko.