Katikkiro nga atuuza omwami wa kabaka
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atongozza Ttabamiruka wa “Buganda Bumu” mu maserengeta ga Afrika ng’omulimu guno gugendereddwamu okugatta abantu ba Kabaka ababeera mu mawanga ago.
Mu mukolo guno, Katikkiro atuuzizza n’okulayiza Abaami ba Ssaabasajja n’Abamyuka baabwe okuli: Owek. Denis Lugolobi ow'Essaza lya Western Cape ne Owek. Dr. Sam Ssemugabi Bakyayita ow'Essaza Johannesburg, ssaako okulayiza enkiiko zaabwe.
Asinzidde eno n’ategeeza nti Buganda eyagala abantu baayo bongere okwezimba nga bakolera wamu.
Owek. Katikkiro ne Owek. Kawuki, wakati nga bali n'abaami ba Kabaka abaatuuzidwa
Yakubirizza abaami okukulemberera mu maaso okwongera okunyweza obuwangwa n'ennono za Buganda, wadde nga bali mu mawanga amalala, era baweereze abantu ba Ssaabasajja (Maasomoogi) mu buvumu n’obumalirivu.
Minisita Joseph Kawuki yategeezezza abantu nti bongere okulumya abo abalina ensaalwa ne Buganda.
Bwabadde alambika abaami ba Kabaka abaggya wamu n'abantu abeetabye mu Ttabamiruka w'Amaserengeta ga Afrika e Cape Town, Owek. Joseph Kawuki yagambye nti bangi abalaba ebintu Buganda by’eyongera okukola ne basalawo okubyogerera amafukuule n'ekigendererwa eky’okusuula Buganda.
Bano yabasekeredde n'agamba nti omukisa gujjira yetegese, era yategeeza nti, bw’otuuulira nnamungi w’omuntu eyetabye mu ttabamiruka ono, kabonero kalaga nti Buganda lwazi.
Owek. Joseph Kawuuki nga awa obubakabwe
Kuno kwe yasinzidde okubakubiriza okufaayo okwenyigira mu nteekateeka za Ttabamiruka addako era batwalire abasigaddeyo amawulire nti basubiddwa era tebasaanye kuddamu kusubwa.
Yagasseeko n’okukubiriza abakulembeze okubeera n'empuliziganya ey’omutindo era bagendere ku nnambika ebaweebwa okuva e Mengo, era n’asaba abantu okuwuliziganya n'abaami ba Kabaka abalambikiddwa mu bwetowaze.