Katikkiro nga gulawo olusisira lw'ebyobulamu
Katikkiro atongozza olusiisira lw'ebyobulamu ng'emu ku nteekateeka y'ebijaguzo eby'emyaka 75 egy'Ekkanisa y'Abaadiventi e Najjanankumbi
Akubirizza abantu okwekebeza newankubadde si balwadde wabula okumanya embeera y'obulamu bwabwe. Asabye abantu okwewala endwadde ezeewalika nga Mukenenya, okulya ekisaanidde n'okukola dduyiro
Yeebazizza ekkanisa olw'okufaayo ku byobulamu by'abantu kubanga newankubadde bannaddiini balyowa myoyo, naye Katonda mu mubiri mweyassa omwoyo, bwatyo n'agamba nti kikulu nnyo okukuuma omubiri nga mulamu bulungi.