Katikkiro nga ali n'abamemba b'olukiiko lwa Bulungibwansi
Enkola ya Bulungibwansi esaana etongozebwe mu Uganda yonna okutumbula obuyonjo n'okutaasa obutondebwensi yaffe.
Kino kijja kulwanyisa ebikolwa ng'okulundira ebisolo mu kibuga, okuzimba amasundiro g'amafuta okumpi n'abantu, okuzimba amayumba agataaliko nnambika n'ebirala.
Tukubiriza abantu baffe okujjumbira enkola ya Bulungibwansi era omwaka guno emikolo emikulu tujja kubeera Kyaggwe nga 08/10/2024.
Katikkiro wakati nga ali n'Oweek Mariam Mayanja n'Oweek Kazibwe
Tetusobola kwonoona butondebwensi netusuubira enkulaakulana.
Oweek. Mariam yategeezezza nti eggwanga terisobola kugenda mu maaso awatali butondebwensi. "Omusolo tegusobola kufunika, okwonoona ettaka kulemesa abantu okulima emmwaanyi, era okwonoona ebibira kiteeka abantu mu buzibu bw'okufuna enkuba," bwatyo Minisita yaggumizza.
Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n'Ekikula ky'Abantu, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja, yategeezezza bino bw'abaddde aggulawo omusomo gw'okubangula abakulembeze b'Abavubuka mu Masaza ku kukuuma obutondebwensi.
Minisita Mariam Nkalubo alaze lwaki baalonzeeyo abavubuka, kubanga baagala baagala abavubuka bongeremu amaanyi okumanya nti guno omulembe omutebi gwabwe Kabaka yagubakwasa era bakozese amagezi amazaale n'ag'essomero babeeko kyebakola okukuuma obutondebwensi.
Oweek Mariam Mayanja nga awa obubakabwe ku butondebwensi
Hajjat Mariam alaze obwennyamivu olw'obulagajjavu bwa Gavumenti obutafaayo ku kutasa ebibira, ettaka, entobazi, n'ebifo ebikuuma obutondebwensi. Yategeezezza nti obulagajjavu buno buviiriddeko embeera y'obutonde okukyuuka. Akubiriza abavubuka okuvaayo obukuukuubira okulwanirira obutondebwensi, batandikire mu bitundu gye babeera.