
Katikkiro nga ayogerako eri abakulu b’Embuga ya Kisekwa ku Bulange e Mmengo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza olukiiko oluggya olukulembera Embuga ya Kisekwa ku Bulange – Mmengo.
Asabye abantu okuva mu bika eby’enjawulo okwewala okutwala emisango mu kkooti z’abulijjo kubanga tezikwatira ku nsonga z’ennono.
Olukiiko luno lwa bantu musanvu, nga lukulemberwa Omuk. Dr. Robert Ssonko. Katikkiro yategeezezza nti alina essuubi ddene mu lukiko luno olw’okukola obulungi, ne lyongera okugonjoola enkaayana mu bwesimbu, mu bwangu, era mu ngeri ey'obwenkanya, ekireetera Buganda okuba mu mirembe.
Yayongedde n’agamba nti bwe bika bitereera, ne Buganda yennyini etereera. N’olwekyo, abasabye okukulembeza obwenkanya mu nsala zonna ze banaawa, era n’abebaza olw’okukkiriza okuwaayo obudde okukola obuvunanyizibwa obw’enjawulo, obunyweza eby'obugagga by'ennono mu Buganda.
Minisita w’Obuwangwa n’Ennono mu Buganda, Anthony Wamala yeeyamye nti Olukiiko luno lujja kukola obunyiikivu mu kuwuliriza emisango, okunoonyereza okutuufu nga tebanguyiza kusaawa ensala, naye nga buli nsonga eyogerwako emulumuddwa bulungi.
Omuk. Dr. Robert Ssonko yeyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubaweesa obuvunanyizibwa bw’okuweereza mu Mbuga ya Kisekwa, era ku lwa banne yeyamye nti baakukola nga bwe basuubirwa.
Abalala abali mu Lukiiko kuliko:
Omuk. Salim Makeera, Omuk. Lubega Ssebende, Omuk. Andrew Kibaya, Omuk. Jamil Ssewanyana, Omuk. Samwiri Walusimbi ne Omuk. Dan Kyagaba.