Katikkiro nga atongozza enkola etuumiddwa 'Ettu lya Nkobazambogo'
Mu nkola eno, amasomero agalimu Nkobazambogo n'abayizi bawaayo ensimbi okuwagira emirimu gy'Embuga.
Katikkiro Charles Peter Mayiga era atongozza obukulembeze obuggya bw'Ekibiina kya Nkobazambogo mu Ggwanga.
Katikkiro alayizza olukiiko lw’ abakulembeze b’ekibiina ki Nkobazambogo abaggya naakubiriza abavubuka okuvuganya ku bifo by’obukulembeze eby’enjawulo.
Era nakulisa ab'olukiiko oluggya abakulemberwa Mw. Lubyayi Adrian Abraham, nneeyebaza n'abolukiiko oluwummudde abakulembera Mw. Kakeeto Hannington Sseremba olw'obuweereza bwe bakoze.
Katikkiro wamu n’olukiiko lw’abakulembeze b’ekibiina kya Nkobazambogo
Katikkiro Mayiga abakuutidde okukozesa omwoyo gwa Buganda ogutafa banywerere ku misomo olwo bajja kusobola okulya ensi eno n’okuggula emikisa gyabwe era bagabane n’ebifo ebyenjawulo eby’obukulembeze.
Bannankobazambogo basabiddwa okunywerera ku Ssemasonga 5 era okufaayo ennyo ku kusoma kwabwe okutangaaza emikisa gyabwe oluvannyuma lw'okusoma.