Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, atenderezza obuweereza bwa eyali Katikkiro wa Buganda, Omugenzi Owek. Paul Nelly Kavuma, eyawaayo obuweereza obw’amaanyi ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II, mu kiseera ekyali ekizibu ennyo, era n’agumira okusoomoozebwa, omwali ebigambo n’okuwakanyizibwa.
Kino kibadde ku mukolo ogw’okutongoza ekitabo ekituumiddwa ‘Crisis in Buganda 1953-1955’, ekyawandiikibwa Omugenzi Owek. Paul Nelly Kavuma, ogutegekeddwa ku Butikkiro e Mengo.
Ekitabo ekitongozeddwa kirimu emboozi y’okuwang’angusibwa n’okudda kwa Kabaka Muteesa II. Obuzibu mu bwakabaka (1953-1955) bwali butakkaanya mu byobufuzi ne ssemateeka mu Uganda Protectorate, era Ssekabaka Muteesa II yagobwa mu ntebe ne awangangusibwa Gavana wa Bungereza, Andrew Cohen.
Katikkiro Mayiga agambye nti Omugenzi Owek. Paul Kavuma yakola ekintu eky’amaanyi okuteeka ebyafaayo mu buwandiike. Yasabye abantu ba Kabaka bonna okubanga bamanyiika mu kuwandiika n’okusoma ebitabo, okulaba nga ebyafaayo bya Buganda biterekebwa obulungi.
Asinzidde wano n'akubirizza abantu okuwandiika ebitabo baleme kudda mu kuwakankya eby'abo abawandiise.
Mu ngeri eyenjawulo, Katikkiro atenderezza abakulembeze Ssaabasajja Kabaka bazze asiima nabawa obwami, okubeera abavumu era abamalirivu ekisukkiridde okutuusa Buganda ku Ntikko, naasaba abaliddawo babalabireko.
Omutaka Keeya Ttendo Namuyimba II omukulu w’Ekika ky’Engo, ajjukizza Abazzukulu bonna abalina okwagala eri Okuwandiika ebitabo, okufuba okubiteeka mu Lulimi Oluganda, kyanguyize abatamanyi Lungereza ookumanya ebyaliwo n’ebyo ebiriwo.
Dr Jane Samalie Kavuma Kayonga, omu ku baana b’Omugenzi eyali Katikkiro Paul Nelly Kavuma era nga yaakulembeddemu okufulumya ekitabo kino, agambye nti kitaabwe alijjukirwanga olw’ebirungi byeyakolera Obwakabaka, naasaba abantu bonna abaagala okumanya ebyafaayo bakyettanire.
Omukolo gwetabiddwako abantu ab’enjawulo nga:
- Jjajja w’Obuyisiraamu, Dr. Kasimu Nakibinge
- Omulangira David Kintu Wassajja
- Nnaalinnya Lubuga Dr. Agnes Nabaloga
- Nnaalinnya Dorothy Nassolo
- Owek. Joseph Mulwanyammuli Ssemwogerere, eyali Katikkiro wa Buganda
- Owek. Patrick Luwagga Mugumbule, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda
- Ba Minisita b’Obwakabaka wamu n’abantu abalala ab’ebuzibwako ensonga ezenjawulo mu Buganda.