
Bboodi empya mu kifananyi ekyawamu ne Katikkiro.
Bboodi empya ekulemberwa Dr. Jane Ruth Nassanga n'amyukibwa Dr. Francis Kakooza.
Nga atongoza bboodi eno, Katikkiro ategeezezza nti Ssaabasajja Kabaka yetaaga abantu abayinza okussa ettoffaali ku Buganda, era kyetaagisa buli muntu mu busobozi bwe okwewayo okuweereza kulw’obulungi bw’eggwanga Buganda. Engeri gyebakkirizza obuweereza buno, abasabye batuukirize ebisuubizo byabwe olwo Buganda edde ku ntikko.
Kamalabyonna asabye bboodi eno bakole obubage bw’enteekateeka ey’enkola ezinaagobererwa mu kutumbula eby’obulamu mu Buganda.

Abakulembeze nga balayira.
Agambye nti eby’obulamu mu Buganda byava dda era abasawo baayingiranga ebisaakaate by’Abaami ba Kabaka okubajjanjaba. Emirembe gya ba Kabaka egy’enjawulo gisobodde okutumbula eby’obulamu, era Ssekabaka Muteesa yazimba amalwaliro ag’enjawulo okuli ery’e Buvuma ne Gombe mu Butambala.
Kabaka Mutebi asoosowazza eby’obulamu mu kugema abaana, atandiseewo amalwaliro n’ensiisira z’eby’obulamu, okubba Nalubiri, fistula, Hepatitis B, era n’emisinde gy’amazaalibwa gye giddukibwa ku mulamwa gwa by’obulamu.
Minisita w’enkulaakulana y’Abantu era avunaanyizibwa ku by’obulamu mu bwakabaka, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, yebazizza Ssaabasajja Kabaka olw’okugaziya empeereza yeby’obulamu okutuukira ddala ku bantu, omuli amalwaliro e Mukungwe Buddu, Busimbi, Nsangi, Bukalasa. Asaba bboodi empya okukozesa obukugu mu bifo bye baweereddwa.
Bboodi nga bweyimiridde:
- Dr. Jane Ruth Nassanga – Ssenteebe
- Dr. Francis Kakooza – Amyuka Ssenteebe
- Dr. Nicholas Mugagga
- Dr. Abbas Kabugo
- Kalungi James Kamanje
- Dr. Naluggya Betty
- Venatious Bbaale Kirwana
- Mubiru Micheal
- Francisca Kakooza – Munnamateeka