Katikkiro nga ayogerako eri boodi empya
Katikkiro abasabye bakole ku nsonga 10 okusobola okutumbula eby'obulimi.
Twagala abakyala beenyigire mu kulima emmwanyi. Kubanga abakyala kyebeenyigiramu kigguka.
Abavubuka balime emmwanyi.
Mukubirize abantu okulimisa ebyuma
Mukubirize abantu okufukirira ebirime nga balembeka amazzi.
Mufube okulaba nga abantu bayigirizibwa okumanya emitendera egiyitibwamu mu kulima emmwanyi.
Mwagazise abantu okunywa kaawa.
Okuyigiriza abantu okulimira awafunda.
kwettanira obwegassi mu balimi, anti agali awamu gegaluma ennyama.
Okwagazisa abato okulima emmwanyi.
Mukubirize abalimi okulinnyisa omutindo gw'amaka gaabwe, galabike bulungi.
Ekulirwa Dr. Benon Ssekamatte.
Abalala abali ku Bboodi;
Mw. Saul Kaye (amyuka Ssentebe)
Mw. Erias Luyimbaazi Nalukoola
Mw. Edward Ssenkindu
Muky. Rosette Nabbumba Nayenga
Muky. Jenah Kirabo Nyende
Dr. Emma Naluyima