Katikkiro ng'atongoza Bboodi empya eya Namulondo Investments Ltd
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, atongozza Bboodi empya ey’ensonga mu kitongole kya Kabaka ekya Namulondo Investments Ltd.
Katikkiro asabye abakulembeze bano okutwala obuvunaanyizibwa n'obuyiiya obw'omutindo omugulumivu okusobola okutuukiriza emirimu gyabwe, nga bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bafuna ensimbi z’obupangisa ze Government eya wakati ebabanja Obwakabaka.
Bw'abadde nga atongoza Bboodi eno, Katikkiro yategeezezza nga bwetali mumativu nnyo engeri ebimu ku bitongole bya Gavumenti ebikolera mu bizimbe by'obwakabaka ebijeema okusasula Obwakabaka ensimbi z'obupangisa.
Agamba nti nga ojjeeko ekitongole ky'essiga eddamuzi, ebitongole okuli, eky'amakomera, Poliisi, ebitebe bya District, n'ebirala bikyeeremye okusasula obwakabaka ensimbi z'obupangisa ekintu ekireetedde Obwakabaka okufiirizibwa n'okuzingamya entambula y'emirimu. nga kino kikosa ennyo emirimu gy’Obwakabaka.
Okwogera bino, Kamalabyonna abadde atongoza Bboodi empya eya Namulondo Investments Ltd ekulemberwa Mw. Fredrick Mutebi Kitaka.
Asabye Bboodi empya eronde obukulembeze obunaasobola okuddukanya emirimu gy'ekitongole kino nga bukozesa obuyiiya nobumanyirivu era bakole pulaani ey'okulabirira ebizimbe by'obwakabaka bisobole okuggyayo ekifaananyi ekirungi eky'obwakabaka.
Bood empya eya Namulondo Investiment nga bali ne katikiro
Minister avunaanyizibwa ku ttaka n’ebizimbe Owek.Daudi Mpanga agambye nti boodi etongozeddwa agirinamu essuubi ery’okusitula obuweereza mu kitongole kino ekya Namulondo Investments Limited.
Oweek David Mpanga, agambye nti banoonyezza Bboodi ey'omulembe guno eragira ddala obumanyirivu mu ntambuza y'ebizimbe, enkulaakulana yabyo era abalinamu obwesige.
Ssentebe wa boodi empya era ng’abadde ne ku nkadde Omuk Fred Mutebi Kitaka, agambye nti baakwongera okukola buli kisoboka okulaba ng’obuvunaanyizibwa obubakwasiddwa babutuukiriza.
Abakulembeze ba Bboodi empya be bano:
- Mw. Fredrick Mutebi Kitaka - Ssentebe
- Dr. Ian Ssenkatuuka - Amyuka Ssentebe
- Dr. Mark Kayongo
- Omuk. John Kitenda
- Mw. Joseph Yiga
- Muky. Candy Namayanja Mpanga
- Mw. Dan Kasirye
- Muky. Sarah Kironde Ssemanda Musoke
- Muky. Gloria Evelyn Nalumansi Byamugisha