Eddwaliro lino ligenda kuzimbwa ku mbuga y’eggombolola eya Mumyuka Busimbi, ku ddaala erya Health Centre 4, nga lye limu kw’ago Beene geyasiima okuzimbwa e Ssingo, Buddu, n’e Kyaggwe.
Katikkiro agambye nti eggwanga lisoomoozebwa nnyo ku nsonga ez’ebyobulamu mu ngeri ez’enjawulo, nga Beene kwe yasinziira okusalawo okuzimba amalwaliro, ataase abantu be.
Avumiridde abatyoboola ekitiibwa ky’abasawo buli lwe bavaayo okulaga obutali bumativu ku nsonga ezitali zimu, so nga buli omu abeetaaga. Oluvannyuma Katikkiro ayanjudde abaakwasiddwa omulimu ogw’okuzimba, abakulirwa Ssalongo Steven Kiberu, ne Yinginiya Zakaria Mukasa.
Ku lwa Minisita w’Ebyobulamu e Mengo, Oweek. Noah Kiyimba, agambye nti COVID19, yagezesa nnyo eggwanga mu byobulamu, nga kye kyasikiriza Beene okusalawo okusembereza abantu be obuweereza buno. Yanjulidde Katikkiro olukiiko oluddukanya amalwaliro g’Obwakabaka, nga lukulirwa Dr. Ruth Nassanga.
Mukwenda, Oweek. David Nantaggya, yeebazizza nnyo Ssaabsajja Kabaka, olw’okusookeza enteekateeka eno e Ssingo, n’asuubizza okugiggusa.