
Katikkiro nga ayaniriza omugenyi we
Obwakabaka bwa Buganda busse omukago ne Tropical Bank okukolera awamu mu ntegeka eziyamba okukyusa obulamu bw’abantu.
Katikkiro asisinkanye Ssenkulu wa Tropical Bank Abdulaziz Muhamed Mansur, nekigendererwa ekyokulaba nga bassaawo enkolagana enaasobozesa abantu okufuna ensimbi bakuze emirimu gyabwe naddala egy'obusuubuzi, nga beesigama ku bumanyirivu Tropical Bank bwerina mu kuwagira emirimu gy'abasuubuzi.
Omukolo gubadde mu Bulange e Mengo.
Katikkiro wa Buganda Owek Charles Peter Mayiga asuubizza nti Buganda egenda kukolagana butereevu ne bbanka z’ebyobusuubuzi ezikulembeza obwerufu mu nzirukanya y’emirimu, n’okutendeka bannansi ku nsonga z’ebyensimbi.
Ategeezezza nti bank z’ebyobusuubuzi nkulu nnyo eri enkulaakulana y’abantu, kyokka nga bwezitakozesa bwerufu mu mpeereza tezisobola kuggya bantu mu bwavu.

Katikkiro mu kifaananyi eky’awamu n’abakungu okuva mu bbanka ya Tropical
Kamalabyonna agamba nti olwokuba akatale akasinga mu byenfuna kali wano mu Buganda, abantu bangi basobola okukozesa Bbanka nga zino ezirina obumanyirivu okulaba nti emirimu gyabwe gikula.
Ssenkulu wa Tropical Bank Hajat Joweria Mukalazi , ategeezezza nti bakwongera amaanyi mu buweereza bwebabadde batuusa mu Buganda , okwongerako okuvujjirira eby’obulimi, Okubunyisa Amazzi amayonjo, era yebazizza Obwakabaka olw’enkolagana ennungi ne Bank.