Spice Diana (ku kkono) ne Katikkiro Mayiga bwe yabadde e Bulange okumuyita ku mukolo gw’okuyimba ogw’emyaka 10
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde effujjo erirabika mu bayimbi, naddala mu bintu ebivuddeyo ensangi zino nga "eggaali." Agamba nti okuyimba kye kimu ku mirimu egisobola okuleeta enkulakulana, era abalina ebitone basaanidde okussa amaanyi mu mulimu gwabwe okusobola okubiganyulwamu.
Bw’abadde asisinkanye omuyimbi Hajarah Namukwaya, amanyiddwa nga Spice Diana, mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri, Katikkiro yakubirizza abayimbi okukola n’obugunjufu era obuvunaanyizibwa mu mulimu gwabwe.
Namukwaya abadde agenyiwadde mu mbuga okuyita Katikkiro mu butongole okwetaba mu kivvulu kye ekigenda okubeerawo ku Serena Hotel ng’ajaguza emyaka 10 mu kisaawe ky’okuyimba.
Katikkiro agambye nti abayimbi bwe banaafuna omwoyo ogw’okwewaayo mu mulimu, bajja kulaba ku biganyulo ebingi, era n’asaba baleme kukozesebwa mu bya bufuzi. “Ababufuzi abamu babakozesa ku bigendererwa byabwe, oluvannyuma ne babasula awo nga tebakyabagasa,” bwe yagambye.
Yeyongeddeko okwebuuza ku bintu ebiyitiriddeyo mu bayimbi nga obutakkaanya n’entalo ezirabika mu kisaawe. Yawadde amagezi nti eby’okukwasaganya n’ensonga z’obutakkaanya birina okukolebwako n’obwegendereza nga bayita mu bantu abalina obumanyirivu okubaluŋŋamya.
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde effujjo mu bayimbi, naddala kye bayita 'eggaali,'
Katikkiro akubiriza abayimbi okwewala efujjo n’entalo kubanga bitattana ebitone n’abakowoola okugya abayambe abatererezeko ebibatawaanya. Katikkiro agamba nti kyonna ekitawanya Patrick Mulwana (Alien Skin) ne Mayanja Pius (Pallaso) ye waali okubawuliriza abaluŋŋamye oba bafune omuntu omulala yenna boogere ekibasumbuwa.
Katikkiro Mayiga yayanjulidde abayimbi ebikulu eby’okussa omwoyo mu mulimu gwabwe, n’okulaba nga bakozesa ebitone byabwe okuganyula obulamu bwabwe. Yabategeezezza nti emikisa mingi egy’okwekulaakulanya ensangi zino, ga bagenda mu by’okweggya mu bwavu nga bayita mu bintu ng’okuggula ettaka oba okwegatta ku pulaani z’okuwola gavumenti ssente (Treasury Bills and Bonds).
Wano, Katikkiro yakubirizza abayimbi okwongera okwetaba mu nteekateeka z’Obwakabaka, okugeza ng’amazaalibwa ga Kabaka n’ebintu ebirala ebikwata ku Bulange. Yeebazizza omuyimbi Spice Diana olw’okubeera omujjumbize mu nteekateeka z’Obwakabaka.
Spice Diana yeebazizza nnyo Katikkiro olw’amagezi g’awadde abayimbi era n’amukakasa nti ebisinga ku by’amuyigiriza agenda kubikola. Yawadde okulambika ku nteekateeka y’ekivvulu kye ku Serena, nga yeeyama okukolera awamu ne Bannayuganda okuyongera okuzimba ekisaawe ky’okuyimba.
Owek. Robert Sserwanga, Omuyimbi Spice Diana, Katikkiro Charles Peter Mayiga, ne Owek. Israel Kazibwe Kitooke nga bali mu kifaananyi ekyawamu oluvannyuma lw’okusisinkana kwabwe
Omuyimbi ono yasabye Katikkiro okubeerawo ku mukolo gwe n’eyebaza nnyo ttivi ya Kabaka BBS Terefayina ne leediyo ya CBS okumuwa ettutumu nga basasanya enyimba ze.
Ensisinkano eno yabaddemu n’abakungu abalala okuli Minisita w’Abavubuka, Ebitone n’Emizannyo, Owek. Robert Sserwanga, ne Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu, Owek. Israel Kazibwe Kitooke.
Owek. Sserwanga naye yakubirizza abayimbi okulowooza ku biseera byabwe eby’omu maaso n’obutennyigira mu mize emibi egiyinza okutaataaganya ekisaawe kyabwe.
Mu nkomerero, Katikkiro Charles Peter Mayiga yeeyamye okwongera okuwagira ebitone bya Buganda naddala ebireetawo enkulakulana. Yasabye abayimbi okulaba nga bajja n’obubaka obugunjufu era obulungi obuyinza okukyusa obulamu bwa Bannayuganda mu ngeri ey’ekitiibwa n’obuvunaanyizibwa.