Katikkiro nga ayniriza Omulimi omuto Jawaduh mu wofisiye
Jawaduh Mayiga, musaayi muto omulimi w'emmwanyi ku kitundu kya yiika mu bitundu bye Nampunge e Kakiri, akyaliddeko Katikkiro naamuyitiramu ku ngeri gyasobodde okwenyigira mu kaweefube w'okulima emmwanyi.
Bwabadde amwaniriza Katikkiro agambye nti ekintu ekisinga omuwendo kwe kuteekateeka abaana okubalaga amakubo ag'enjawulo gebasobola okukwata nebeeyimirizaawo ku lwabwe.
Yebazizza bazadde ba Jawaduh olwokumusobozesa okubaako byakola ku myaka emito.
Ku myaka 11, Jawaduh Mayiga alima Mmwanyi mu bitundu by'e Nampunge mu Busiro. Nneebaza bazadde be olw'okumuwa Ettaka ne bamuwagira mw'ekyo kyayagala ate nga bw'asoma.
Omukwano gw'abazadde eri abaana si kubajjajjatta, wabula mubateeketeeke nga mubayigiriza ebyo ebinaabayamba. okweyimirizaawo. Amaka mangi bwegafiirwa abantu ab'ettuttumu gatandika okuseebengerera kyokka singa abaana baba baayigirizibwa okukola, basobola okubaako bye beekolera.
N'olwekyo muteeketeeke abaana kubanga kye kisinga okuba eky'omuwendo gye bali.
Katikkiro nga alinabalimi bemwanyi okuva musaza Busiro
Alabudde abazadde abalowooza nti omukwano omungi eri abaana nga ba bajajjatta kye kisinga obulungi, agamba nti abazadde balina okusigaza obuvunaanyizibwa okuyigiriza abaana ebyo ebinaabayamba, okugeza, okubayigiriza empisa z'obuntubulamu, okubatwala mu masomero, n'okubayigiriza okukola
Ayagala abaana abato bategeere nti mu kulima emmwanyi omuntu asobola okweyimirizaawo era n'agaggawala.
Mayiga Jawaduh asabye Katikkiro amukwase obuvunaanyizibwa obwokukwata omumuli gw'okubunyisa enjiri y'okulima emmwanyi mu baana abato mu Uganda n'ebweru wa Uganda. Asabye obwakabaka bumukwasizeeko bumufunire ettaka agaziye ku kwolesebwa kwe okufuuka omulimi omukukuutivu ow'emmwanyi.
Jawaduh yebazizza bazadde be abaamuwa ettaka kwaddukanyiza emirimu gye.
Mu kukyala kuno, Jawaduh atambudde ne Nnyina, wamu n'abalimi b'Emmwanyi abakukuutivu mu Busiro omuli abeegattira mu kibiina kya Community farmers network.
Jawaduh Mayiga muyizi mu kibiina eky'omukaaga (P6) ku KY Primary School e Masaka.