
Katikkiro nga akwasa minisita ebirabo okuva e Buganda
Katikkiro asisinkanye Minisita omubeezi w'obusuubuzi n'obusizi bw'ensimbi mu Ssaza Sharjah erya UAE, Sheikh Majid Faisal Al Qasimi.
Sharjah lye Ssaza erisangibwamu amakolero mu UAE nga liyingiza ebitundu 12% ku nsimbi eziyingira okuva mu Masaza agakola United Arab Emirates, era eno y'entabiro y'emirimu gy'obusuubuzi mu kyondo kya Buwalabu.
Ensisinkano eno egendereddwamu okubangawo emikago n'okubaako eby'obuyigirize kubanga bayiyiza ssaako n'okulowooleza Ensi y'abwe ekibafudde ab'amaanyi mu bbanga lya myaka 40 gyokka.
Mu byebakoze e Uganda kuliko; okuzimba ekisaawe e Kidepo, okulaba ku eby'emmwanyi n'obulimi, okuzimba ettendekero ly'ebyemikono e Busoga n'ebirala.
Katikkiro agamba nti eby'okubayigirako bingi bisaanira okugabanyizaako abantu ba Buganda ne Uganda okutwaliza awamu.

Katikkiro nga ali netiimu eyamuwerekeddeko ne minisita gwe bakyalidde
Kamalabyonna awerekeddwako omubaka wa Uganda mu UAE, H. E Zaake Wannume Kibedi, Oweek Joseph Kawuki, Oweek Hajji Amisi Kakomo, Oweek Hajj Mutaasa Kafeero, omuk John Fred Kiyimba Freeman, Oweek Sheikh Abbas Nsubuga n'omumyuka we Umar Bakasambe.