Katikkiro mu kifananyi ekyawamu neba ssenkulu b'ebitongole
Ba Ssenkulu b'Ebitongole by'Obwakabaka byonna basabiddwa okunyweza Obumu n'Okuwagiragana, olwo bayambeko mu nkulaakulana y'Obwakabaka eyannamaddala.
Bwabadde asisinkanye ba Ssenkulu b'Ebitongole by'Obwakabaka ku kitebe ky'ekitongole ky'Ebyobulambuzi mu Bwakabaka ekikulu ku Butikkiro, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ategeezezza nti buli baweereza lwebatambulira awamu ebisomooza bingi bisobola okugonjoolwa mu bwangu.
Katikkiro nga ayogerakko eri bassenkulu b'ebitongole
Katikkiro asabye ba Ssenkulu okulowooleza ennyo ebitongole bye bakulembera era balabe nga bikulaakulana, mu ngeri yeemu naasaba enkolagana wakati wa ba Ssenkulu b'Ebitongole n'Abakozi ebeere nungamu, era abakozi abakola Obulungi basiimibwe kyenkanyi.
Minisita w'Ebyobuwangwa ,Ennono, Embiri n'eby'okwerinda Owek Anthony Wamala, aweereddwa ekirabo ekimusiima okukulembera obulungi ba Ssenkulu mu kiseera bweyali Ssentebe w'olukiiko lwabwe.
Oweek Anthony Wamala nga awa Katikkiro keeki gyeyasaze nga bamu yozayoza
Mu kwebaza, Oweek Anthony Wamala asabye enkiiko zonna ezitegekebwa ebitongole by'Obwakabaka zikolebwe nga mu ddiiro lya ba Ssenkulu b'Ebitongole ku kitebe ky'ebyobulambuzi, mu nkola y'Okuwagiragana, nga akamu ku bubonero bw'Okuzza Buganda ku ntikko.
Ssentebe wa ba ssenkulu b'Ebitongole by'Obwakabaka, Omuk. Roland Ssebuufu, agambye nti ensisinkano eno yakwongera okuvaamu ebibala bingi.