Katikkiro wakati ne Minisita Choltilda Nakate n’abakulu ababadde ku lukiiko lwa Kisekwa
Olukiiko luno olukulemberwa Omuk. Joshua Kateregga Kisekwa, luweereza okumala emyaka 11 okuva lwe lwayanjulwa nga 13/08/2013.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza nnyo ab'olukiiko luno olw'obuweereza bwe bakoze mu kiseera kino bw'agambye nti bwesigamiddwa nnyo ku bwesimbu n'okwewaayo naddala mu kunonyereza ku buli nsonga ebadde erutuukako.
Katikkiro agamba nti Ebika gwe musaayi gw'Obwakabaka era mu mbeera ze tubeeramu buli lunaku, tubeera mu nsonga za Bika kati nga mu mikolo gy'okwanjula, okutuuma amanya, mu kwabya Ennyimbe n'ebirala kale ensonga y'obukulu bw'Ekika efuula eddiiro lya Katikkiro Embuga enkulu ddala, kubanga obukulembeze mu Bika bwe butereera obulungi, n'abazukkulu bongera okutebenkera mu Bika ebyo.
Katikkiro nga awayamu ne Kisekwa
Akubirizza abakulembeze mu Bika byonna okufaayo okuwandiika ebyafaayo by'Ebika byabwe, kisobole okuyamba emirembe eginaddako okufuna okumanya okutuufu okuva mw'ebyo ebyawandiikibwa.
Wano waategeereza nti olukiiko oluggya lugenda kulangirirwa mu kiseera ekitali kya wala newankubadde ku lukiiko oluteekateeka okuwummula kuyinza okubaako abakomawo ne ku luddako.
Ensisinkano eno ebadde ku Butikkiro, yeetabiddwamu Minisita Choltilda Nakate Kikomeko ku lwa Minisita w'Obuwangwa n'Ennono, n'Abakungu ab'enjawulo abatuula ku Lukiiko lw'Embuga ya Kisekwa.