Katikkiro ( wakusatu okuva ku dyo ) wamu ne Uganda Alcoholic industry association
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye ab’ekibiina ekitaba abasogozi b’omwenge nategeeza nti omwenge mukulu nnyo mu nnono za Buganda naye gusobola okubeera ogw’obulabe singa omuntu aguyitiriza.
Katikkiro asabye abanywi boomwenge okunywa n'obuvunaanyizibwa.
Kamalabyonna agamba nti Omuntu owoobuvunaanyizibwa talina kunywa mwenge kugangayira nafuuka ekisekererwa, wabula kikulu omuntu okunywamu mu kiseera ekyokusanyuka ng'ali ne banne.
Bino abyogedde asisinkanye abakulembeze b'ekibiina ekigatta amakampuni agasogola omwenge, ki Uganda Alcoholic Industry Association, ekikulemberwa Mukyala Jackie Tahakanizibwa Kwesiga, ku Bulange.
Bano baagala obwakabaka bubategeere wamu n'okussaawo enkolagana eruubirira okulwanyisa obulabe obuyinza okuva mu butamiivu.
Nga bakwasa katikkiro ekirabo
Katikkiro avumiridde omwenge gwomubuveera gwagambye nti gwa bulabe, teguliiko alamula, ate tegulina layisinsi, wabo waasabidde abantu bagwewale.
Era alabudde abanywa omwenge ekiyitiridde nti kino kiviirako okusasaana kwa mukenenya kubanga abantu bangi bwebanywa omwenge nga badda mu bikolwa byokwegatta.
Jackie Tahakanizibwa, asabye obwakabaka bubateereyo eddoboozi ku mateeka agaleetebwa ku byokunywa, g'agambye nti gabanyigiriza bbo nga abasogozi b'ebyokunywa bino.
Ensisinkano eno yetabiddwamu minisita w’Obulimi obulunzi obuvubi n’obwegassi oweek Hajji Amis Kakomo, Minisita w’ Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel kazibwe Kitooke n’ abakungu abalala.