donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro asisinkanye Abataka Abakulu b'Obusolya

Katikkiro asisinkanye Abataka Abakulu b'Obusolya
Wano Katikkiro nga ayogerako eri Abataka Abakulu b’Obusolya.

Wano Katikkiro nga ayogerako eri Abataka Abakulu b’Obusolya.

Bano babadde mu nsisinkano yaabwe eya buli mwaka eyatudde mu Bulange e Mmengo.

Wano Katikkiro Mayiga asabye Abataka Abakulu b’Obusolya okunyiikira ensonga eziyitimusa Ebika bisobole okuddamu omuggundu n’okwongera ku nteekateeka y’okuzza Buganda ku ntikko.

Abajjukiza ennyingo mukaaga (6) Kabaka ze yabalambulira mu bubaka bwe obwa 18/09/2025 mu lukiiko lw’Abataka olw’enjawulo olwatudde mu Bulange e Mmengo:

  1. Okwejjukanya ebyafaayo by’Obwakabaka
  2. Okumanya nti Kabaka ye Ssaabataka era ye kitikkiro ky’Obwakabaka
  3. Okutumbula enkulaakulana mu Bika
  4. Abaana b’Abataka okusomesebwa
  5. Okuwagira bazzukulu abaliko bye bakoze
  6. Okunyweza obukulembeze mu Bika — buli Kika kibeere ne Katikkiro n’olukiiko olufuzi era banywezebwe eri Ssaabataka

Owek. Mayiga alabudde bakatikkiro b’Ebika okulondoola enteekateeka z’Ebika n’okulungamya enkiiko ezikulembera Ebika, era bawabule Abataka ku nteekateeka ezikwata ku nkulaakulana y’Ebika.

Yebazizza Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, olw’okutumbula obumu mu Bataka, era n’abasaba okutambulira awamu mu nteekateeka z’okulwanirira Obuganda.

Wano Omukubiriza w’Abataka nga ayogerako gyebali.

Wano Omukubiriza w’Abataka nga ayogerako gyebali.

Ye Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka, Nnamwama Augustine Kizito Mutumba alambuludde ezimu ku nteekateeka ze bataddeko omulaka mu Bika; omuli enkiiko eza buli mwezi, omusomo ku buwangwa n’ennono, okulamaga ku Butaka n’ebirala.

Ono yebazizza Katikkiro ne Kabineeti ya Kabaka olw’omulimu gwe bakola ku ludda olw’Ebika, obuwangwa n’ennono era ategeezeza nti enkola ya Minisita w’Obuwangwa n’Ennono okulambula Ebika ebakoze bulungi ddala.

Omutaka Nnamwama era aliiko ensonga n’ategeezezza Katikkiro, olukiiko lw’Abataka ze lwagala zitunulwemu omuli; Abataka abaggya okwanjula Embuga, okuddaabiriza ebibumbe by’Ebika, n’Elensonga endala ez’enkizo era Katikkiro amuwadde obweyamu nti zikolebwako era zijja kugguka.

Ensisinkano yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Owek. Anthony Wamala ne Minisita Israel Kazibwe Kitooke ow’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK