Katikkiro wakatti mu kifanannyi ekyawamu nabakozzi b'obwakabaka
Katikkiro asisinkanye abakozi ba Gavumenti ya Kabaka n'abalambika ku ntambuza y’emirimu gy'Obwakabaka.
Abakubirizza okugoberera ebiwandiiko ebitongole ebirambika enzirukanya y'emirimu mu Bwakabaka omuli, Human resource manual ne Nnamutaayiika baleme kuva ku mulamwa gw'entambuza y'emirimu.
Asabye Abakugu balondoole emikago n'obukulu bwajo balabe nga giteekebwa mu nkola.
Era abasabye babeere ba mmizi, bakuume bulungi ebyama by'ekitongole.
Annyikizza eky'okunyweza ennyingo ennya, okuli; obwerufu, obunyiikivu, obukozi, n'obumalirivu.
Omuwandiisi w'Enkalakkalira mu Woofiisi ya Katikkiro, Omuk. Josephine Nantege, akubirizza abakozi okukozesa obukugu n'omutindo mu mirimu gyabwe kyongere okuweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Ensisinkano eno ebeerawo buli mwaka.