Katikkiro asisinkanye Ababaka ba Kabaka ebweru wa Buganda abaggya, n'abamyuka baabwe, ate n'abawummudde. Ensisinkano ebadde ku Hyatt Regency Hotel, mu kibuga Seattle, mu Amerika.
Yeebazizza abaweereza abawummudde, n'abategeeza nti mu Bwakabaka, buli muntu assaako ettoffaali, abalala kwe batandikira, ate naayaniriza abaggya n'okubalambika ku buvunaanyizibwa obubakwasiddwa.
Abategeezezza nti obukulembeze buba buvunaanyizibwa bwakutema mpenda ezivvuunuka ebizibu, so si kubirombojja.
Ababaka beebazizza Katikkiro olw'okubalambika obulungi, ne bamuyozaayoza n'olwokuweza emyaka 10, ng'alamulirako Kabaka Obuganda.