
Owek. Katikkiro Charles Peter Mayiga ne Owek. Joseph Kawuki nga basisinkanye abaami b’amasaza e Bulange, Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abaami b’Amasaza n’abamyuka baabwe mu lukiiko olutuuziddwa e Bulange, Mmengo.
Katikkiro wa Buganda asinzidde wano n'akubiriza abaami ba Kabaka ku mitendera gyonna okugoberera ennambika ezibaweebwa Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka mu byonna bye bakola nga batuukiriza obuvunaanyizibwa obwabaweebwa.
“Ebirowoozo tulina bingi, naye buli omu tasobola kuteeka mu nkola ekirowozo ky’ayagala. Tulina okubeera n’ennambika. Oli yaŋŋamba nti tulime pamba, ne mugamba nti naye mulungi, naye katusooke emmwanyi bwe zinaamala okunnyikira tunaatunuulira n’ebirime ebirala,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.
Kamalabyonna wa Buganda yebazizza abaami b’amasaaza olw’emirimu gye bakola mu bantu ba Kabaka, kyokka abakuutidde okwongera okubukaza obukulembeze okuva ku mutendera ogwa wansi okutuuka ku ssaza.

Abaami b’amasaaza mu nsisinkano yaabwe ne Katikkiro e Bulange
Abasabye okunyweza obumu n’okugabana emirimu, gireme kwetuuma ku muntu omu. Abakuutidde okweyongera okuwa abantu amagezi ku mirimu egiyinza okuvaamu ensimbi okuvujjirira emirimu gyabwe.
Owek. Mayiga alabudde abaami b’amasaaza ku biseera by’ebyobufuzi Eggwanga mweriri, n’abasabye okwewala okubuulira bantu kadingidi oba okusosola mu bibiina by’ebyobufuzi. Abakuutidde okwettanira bonna abatunuulira ekitiibwa kya Kabaka.
Akalambiddwa okwongera okulongoosa Embuga zaabwe, okugumya abantu okujjumbira enteekateeka y’Oluwalo, nga bajjukira nti Buganda ku Ntikko si ngombo wabula nteekateeka ya kusitula Buganda n’abantu baayo.
Owek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, naye awadde alipoota ku nkyukakyuka ezatuukiddwako okuva lwe Katikkiro yasooka okusisinkana abaami bano. Ategeezezza nti waliwo okuteekateeka okw’enjawulo, abantu baalondebwa okuweereza nga Abalezi n’Abaseesa okuyambako abaami b’amasaaza okutambuza emirimu.
Ategeezezza nti abaami bonna bawadde yinsuwa z’obulamu era n’abakuutidde okwongera okunyweza obumu n’okutumbula Federo ey’ebikolwa.
Ensisinkano eno yetabiddwamu abaami b’amasaaza okuva mu masaza gonna KUMI NAMUNANA(18) aga Buganda n’amalala agali ebweru wa Buganda.