Ensisinkano ebadde ku Muganzirwazza e Katwe olwa leero n’ekigendererwa eky’okubeebaza emirimu gye bakola, n’okubalambika ku nteekateeka z’Obwakabaka ezigenda mu maaso.
Katikkiro aggumizza emigaso gy’okusisinkana ng’abaweereza ku mitendera gyonna, ne bamanyagana; ne bawangana amagezi ku nkola y’emirimu, ate n’okunyweza obumu.
Abajjukizza obukulu bw’obwami bwe balimu, n’abakubiriza okutuuza enkiiko; okulambula emiruka n’ebyalo bye batwala, baweereze bulungi abantu nga bategedde ebibafaako; balondoole ebirina okukolebwa, n’okukuuma ebyobugagga by’Obwakabaka omuli n’okuyooyoota embuga.
Abasabye okunnyikiza Ensonga Ssemazonga n’enteekateeka z’Obwakabaka mu bantu okusobola okuggusa kaweefube wa Kabaka ow’okusitula embeera z’obulamu bw’abantu be.