Katikkiro wakati nga ali nabami baamasaza
Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka abaakalondebwa mu bukulembeze ku mitendera gyonna, okubeera abakozi ennyo n’okugoberera ennambika zÓbwakabaka .
Asisinkanye abaami b’amasaza n’abamyuka baabwe mu Bulange e Mengo.
Katikkiro era atenderezza abaami Ssaabasajja beyasiimye bawummule, olwéttoffaali lyebatadde ku nkulaakulana yÓbwakabaka.
Katikkiro mungeri yeemu alambise abaami ba Ssaabasajja wamu n’abamyuuka baabwe ku nzirukanya yémirimu era, abaagalizza obuweereza obwébibala.
Abasibirira entanda ey'okutambuliza obuweereza bwabwe mu Nnamutaayiika w'obwakabaka omuva ensonga Ssemasonga ettaano ezirambika obuweereza bwabwe.
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu n'ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, oluvannyuma asisinkanye abaami bano n'abalambika ku ngeri gyebalina okutambuzaamu obuweereza bwabwe era baweereddwa n'ebiwandiiko bye banaagoberera nga baddukanya emirimu gyabwe.
Katikkiro akubirizza Abaami b'Amasaza n'abamyuka baabwe abaggya okukola emirimu nga batambulira mu buufu bwa Ssaabasajja Kabaka.
Abasabye okugoberera ennambika y'obukulembeze mu Buganda ey'emitendera esatu okuli;
Ensonga za Buganda Ssemasonga Ettaano.
Enteekateeka Nnamutaayiika ey'Obwakabaka eya buli myaka 5.
Enkola ey'Omulembe Omuggya.