Katikkiro, Minisita w’Ebyobulamu Owek. Coltilda Kikomeko, n’Omukubiriza w’Olukiiko nga bali wamu n’abakulembeze b’ekitongole kya Uganda Kidney Association
Ab'ekitongole ki 'The Uganda Kidney Association bazze Embuga okufuna eddoboozi ly'Obwakabaka mu kwongera okumanyisa abantu ku bulwadde bw'ensigo.
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga asisinkanye abeegattira mu kibiina ki ”The Uganda Kidney Association’ nga bano beebatawaanyizibwa ekirwadde ky’ ensigo naasaba Gavumenti okusoosowaza eby’obulamu naddala ku nsonga y’okutendekebwa kw’abasawo era ebateerewo embeera ennungi eyanguya omulimu gwabwe.
Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange, Mmengo ku Lwokuna era bano babadde bazze okwongera okufuna eddoboozi ly’Obwakabaka ku kirwadde kino kiyambe okwongera okumanyisa abantu ku kizibu kino.
“Tukubiriza abantu bulijjo okwekebeza endwadde okumanya embeera y’obulamu bwabwe, okubeera abavumu, obuteekubagiza nga balina obulwadde n’obutejjanjaba wabula okutuukirira abakugu ku ndwadde ez’enjawulo.
Tusaba ne Gavumenti okusoosowaza Ebyobulamu nga bafaayo ku mbeera y’abasawo, okulondoola eddagala obutabibbwa n’okuteeka ebyuma eby’omulembe mu malwaliro” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Katikkiro ng’awa obubakabwe eri ab’ekitongole kya Uganda Kidney Association ku nsisinkano e Mmengo
Katikkiro Mayiga asuubizza ng’Obwakabaka bwebugenda okwongera okumanyisa abantu ku kirwadde kino mu nteekateeka z’ebyobulamu ez’enjawulo zebakola.
Ono agamba nti endwadde nga kookolo, sukaali, ensigo n’endala bitawaanya nnyo abantu naabasaba okwekebeza nga obudde bukyali era bwebaba bazuuliddwamu obulwadde buno baleme obuteekubagiz bulijjo amagezi n’eddagala babinoonye mu bakugu baleme kubuzaabuzibwa.
Mukuumaddamula era alabudde abantu okwegendereza emmere gyebalya kuba emu evaako endwadde nnyingi bwatyo n’abavubuka naabasaba okukendeeza ku mwenge kubanga nagwo guleeta endwadde eziwerako.
Minisita w’Ebyobulamu mu Bwakabaka, Owek. Cotilidah Nakate Kikomeko ajjukiza abantu ba Buganda okufaayo ku bulamu bwabwe okusinga ekintu ekirala kyonna era bakimanyi nti omulamu yasobola okukola n’okuzza Buganda ku ntikko.
Akulembeddemu bannakibiina kino, Sam Lukwago nga naye mulwadde wa nsigo, ategeezezza nti basomoozebwa okuba nga abantu bangi tebamanyi nti eggwanga lirina ekizibu ky’obulwadde buno naasaba Kamalabyonna okugattako eddoboozi ataase abawangaalira mu butamanya.
Ensisinkano eno yeetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule n’abakungu abalala.