donate

Choose Language

Select your language

  
donate

Katikkiro asabye Gavumenti eyimbule Dr. Besigye ng’asinziira ku nsala ya Kkooti Enkulu

Katikkiro asabye Gavumenti eyimbule Dr. Besigye ng’asinziira ku nsala ya Kkooti Enkulu
Katikkiro asabye okuyimbula Dr. Kizza Besigye mu kutongoza Oluwalo 2025 e Bulange, Mmengo

Katikkiro asabye okuyimbula Dr. Kizza Besigye mu kutongoza Oluwalo 2025 e Bulange, Mmengo

Katikkiro wa Buganda, Oweek. Charles Peter Mayiga, asabye Gavumenti eya wakati okuyimbula Dr. Kizza Besigye nga egoberera ensala Kkooti Ensukkulumu gy’eyawa gyebuvuddeko.

Okulambika kuno, Katikkiro Mayiga akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano, bw’abadde atongoza enteekateeka y’Oluwalo ey’omwaka 2025.

Kamalabyonna agamba nti okukuumira Dr. Besigye mu kkomera nga mulwadde kiwa eggwanga ekifaananyi ekibi, ekisobola n'okunyomoola ebigambo bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni eby’okugoberera obutuufu bw’amateeka n’obwenkanya mu ggwanga.

Omukulembeze w’eggwanga, Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, asiiba agamba nti gavumenti ye egoberera amateeka nga etuukiriza obuvunaanyizibwa bwayo eri bannayuganda.

Oweek. Mayiga yalaze essanyu ku bigambo Pulezidenti bye yayogedde mu kulayiza abalamuzi ba Kkooti Ejulirwamu, bwe yategeeza nti Uganda erina amateeka agakola nga engabo y’eggwanga, era nakakasa nti wegatali, tewabaawo kukola mirimu wadde okugenda mu maaso.

Katikkiro awunzise ng’asaba Dr. Besigye ayimbulwe, era bwe wabaawo ebyetaaga okutereeza mu fayiro ye, bikolebwe nga ali waka.

Kinajjukirwa nti abakulembeze bangi ku mitendera egy’enjawulo, omwabadde n’abakulembeze b’eddiini, bavuddeyo ne bavumirira ekikolwa ky’okukuumira Dr. Besigye mu kkomera nga mulwadde.

Kino kiddiridde Kkooti Ensukkulumu okulagira nti abasibe bonna abali mu Kkooti y’Amagye bazzibwe mu kkooti ezabulijjo, kubanga Kkooti y’Amagye teyalina buyinza okubakwatako, era nga kino kyali kivvoola Ssemateeka wa Uganda.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK