
📸 Oweek. Katikkiro ng’ayogerako eri abakulira ebibiina by’obwegassi mu Buganda
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, asabye ebibiina by'obwegassi ebiri mu bwakabaka okukolagana n'ekitongole ekivunaanyizibwa ku bibiina eby'obwegassi mu Buganda – BUCODA – mu kaweefube w'okwongera ku magezi ag'ekulaakulanya n'enkula y'emirimu.
Katikkiro abadde asisinkanye ebibiina eby'enjawulo okuli:
- Essuubiryo Zambogo Sacco
- CBS Pewosa Kyaddondo
- CBS Pewosa Busiro
- Buladde Financial Services
Ebikungaanidde ku ttabi lya CBS Pewosa Nsindika Njake ku luguudo Kabakanjagala enkya ya leero.
Kamalabyonna agamba nti ng'alambula ebitongole bino, kigendererwa kyakumanyagana, okuwuliziganya n'okuyiga ku balala. Kino kijja kunyweza enzirukanya y'emirimu egendereddwamu okuweereza abantu n'okukyusa embeera zaabwe.
Yasabye abakulira ebitongole kutema empenda ezigaziya amakubo g'ennyingiza era kisobozese okukola amagoba agawerako.

📸 Oweek. Amis Kakomo ne Katikkiro nga bali wakati w’abaddukanya Esubiryo Zambogo SACCO
Yagattako nti abakozi mu bibiina bino balina okukwata omumuli gw’Obwakabaka mu butongole nga boolesa obwerufu n'obuyiiya mu nteekateeka y’okutereka ensimbi y’abantu.
Minisita w’Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amisi Kakomo, naye asabye ebibiina bino okukolagana obulungi ne BUCODA, n’agamba nti kijja kubayambako okusikiriza abawozi b’ensimbi naddala banka n’ebitongole ebirala.
Ba Ssenkulu b’ebitongole bino bawadde alipoota ku butya bwe baddukanya emirimu n’engeri gye bakwatamu ensimbi z’abantu, era ne balaga nti okweyongera kw’abo abeewola ssente kwayambye okukulaakulanya ebibiina.