donate

Choose Language

Select your language

donate

Katikkiro asabye abaweereza b’Obwakabaka okubeera abayiiya era abeerufu mu mirimu gwabwe

Katikkiro asabye abaweereza b’Obwakabaka okubeera abayiiya era abeerufu mu mirimu gwabwe
Katikkiro ng’awa obubaka ku Bulange Mengo mu lukiiko, ategeeza enteekateeka y’emirimu gy’omwaka omuggya

Katikkiro ng’awa obubaka ku Bulange Mengo mu lukiiko, ategeeza enteekateeka y’emirimu gy’omwaka omuggya

Katikkiro asisinkanye abaweereza mu Gavumenti ya Ssaabasajja Kabaka n'abasibirira entanda ey'okutambuzaamu emirimu mu mwaka guno omuggya 2025.

Abakubirizza okunyweza Nnamutayiika w'Obwakabaka abalambika mu ntambuza y'emirimu gyabwe, nga bakolera mu buyiya, obwerufu, obunyiikivu, okukola n'okwagala, era nga tebeerabidde kuwa bantu be baweereza kitiibwa; okukuuma ebyama by'obwakabaka, bayambagane mu mirimu, era bewale okwesukkulumya n'okukulembeza nfunira wa.

Abaweereza b'Obwakabaka bawuliriza obubaka bw’omusomo n’enteekateeka y’obukodyo n’ebikolwa ebigenda okugobererwa mu mwaka omuggya

Abaweereza b'Obwakabaka bawuliriza obubaka bw’omusomo n’enteekateeka y’obukodyo n’ebikolwa ebigenda okugobererwa mu mwaka omuggya

Ku nsonga y'okukuuma obulamu bwabwe nga bulamu, Katikkiro alina okukkiriza nti okukola dduyiro limu ku ddagala, eritabuusibwa maaso, era abasabye bamujjumbire kibayambe okubeera abalamu obulungi.

Abaweereza ba Gavumenti ya Kabaka be batambulirako enteekateeka zonna ezisoosowazibwa Kabineeti n'okulaba nti obuweereza butuuka ku bantu ba Kabaka yonna gyebali.

Ensisinkano eno eyindidde mu Bulange Mmengo ku Lwokutaano era bano babanguddwa ku ntambuza y’emirimumu mu mwaka guno omuggya 2025.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK