
Owek. Katikkiro ng’ali n’abakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform mu kifaananyi ekyawamu.
Owek. Katikkiro wa Buganda asabye abavubuka n’abawagizi ba National Unity Platform okwogera ku mitimbagano nga beesigamya ku buvunaanyizibwa n’obwegendereza, baleme okwogera ebiyinza okubagobya oba okubafuukirira mu biseera eby’omu maaso.
Agambye nti, “Oyinza okwogera ekigambo leero ne kikufiiriza obukulu mu myaka kkumi okuva kati. Bw’oba olabye ensobi, gamba ku nsobi naye tovuuma muntu, era toyogera ku nnyina, mukyala we oba omwana we.”
Yagasseeko ng’agamba nti, “Emmeeme etafumba bigambo, ekwogeza munno ky’atalyerabira.”
Bino Katikkiro abyogeredde mu bawagizi ba NUP abakulembeddwamu President waabwe, Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu, abaabadde bakyadde e Bulange okuwoza olutabaalo lw’okunoonya obululu nga bwe luyimiridde.

Owek. Katikkiro ng’awa obubaka bwe.
Katikkiro entanda ye agyesigamizza ku nsonga ssemasonga ettaano, omuli; okukuuma, okutaasa n’okunyweza Nnamulondo, okugaba obuyinza mu nkola ya federo, okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda, okukola obutaweera, n’okunyweza obumu.
Asabye abawagizi ba NUP ensonga ezo bazikwate n’obumalirivu, bazirwanirire mu bwesimbu, nga bwe ziba ez’okukulaakulanya abantu n’okuwangula omutima gwa Buganda. Yagambye nti Buganda eyagala abakulembeze ba NUP n’aba NRM batuule wamu banyumye, kubanga obumu n’eddembe ly’abantu by’essuubi ly’Obwakabaka.
Kamalabyonna yazzeemu okukowola Gavumenti okulaba nti akalulu kabeera ka mirembe, nga bakomya emiggo, omukka ogubalagala n’amasasi, n’agamba nti ebyo birekebwe abalabe abalumba Uganda.

Owek. Katikkiro ng’anyumya ne Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu n’ekibiina kya National Unity Platform baagambye nti baakwongera okuba abawulize eri Nnamulondo. Era n’atumya Katikkiro atuuse obubaka eri Ssaabasajja Kabaka nti bamwagala nnyo, bamusabira era baagala nnyo e ggwanga lyabwe.
Yagambye nti waliwo abavuganya nabo mu by’obufuzi abakola kagenderere okwonoona enkolagana ennungi eriwo wakati wa NUP n’Obwakabaka bwa Buganda.
Omukolo gwetabiddwako Oweek. Noah Kiyimba, Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Oweek. Choltilda Nakate Kikomeko, Oweek. Hajjat Mariam Nkalubo Mayanja; ate ku ludda lwa NUP kuliko Joel Ssenyonyi, Hon. Muwanga Kivumbi, Hon. Gorret Namugga, Hon. Christine Nakimwero, Hon. Florence Namayanja n’abakulembeze abalala ku mitendera egy’enjawulo.