Kamalabyonna wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye Abavubuka mu Bwakabaka abalina obukugu obwenjawulo okubeera abagumiikiriza, kubanga bwe banaaba abagumiikiriza, bajja kufuna obuwanguzi mu bye bakola.
Bwabadde asisinkanye Abavubuka abalina obukugu mu bisaawe eby’enjawulo e Bulange, Mengo, wansi w’omulamwa ogugamba nti "Obuvunaanyizibwa bw’Abavubuka Abalina Obukugu mu Buganda gye twegomba," Katikkiro yalaze nti embeera ennywevu eyeetaagibwa abavubuka esobola okuzimba obulungi n’okuleetawo enkulaakulana singa bagoberera eby’obugumiikiriza n’okutunuulira eby’enkizo okusinga okwettanira eby’obugagga eby’amangu.
Agambye nti ebisinga okutawaanya abavubuka kwe kwagala okufuna eby’obugagga eby’amangu era nga batayagala kuteeka ku mikisa egitwala obudde okugunjula obukugu bwabwe. Katikkiro yagambye nti:
"Omuvubuka yenna alina okukimanya nti obukugu n’obumanyi mu kintu kitwala obudde. Omusomesa asinga mu bulamu si y’oyo ali mu kibiina wabula kye kiseera ky’omala ng’oddiŋŋana ky’okola."
Yayongedde okusanyukira okulaba abavubuka mu bukugu bwabwe obusome wano mu Bulange, ng'ategeeza nti Omuganda agamba nti:
“Nantakiika Mbuga, nti eby’Embuga biriibwa baganzi.” Mwebale kuba balabufu.
Yasabye abavubuka okusigala nga balina ekisa era nga bettanidde obugumiikiriza. Yagambye nti abantu abalina obukugu bwe bakozesa obulungi bayinza okuwangula ebifo by’obuweereza era Kabaka asobole okubawa ebifo eby’ekitiibwa mu Bwakabaka.
Katikkiro mu ngeri eyenjawulo asabye Abavubuka okufuna ekyenkomeredde mu bukugu bwabwe, okusobola okwetunda mu nsi eno nga bakozesa ebyo bye basobodde okuteekawo, nga balemesa okwesuulirira oba okulowooza nti byamagero bijja kubaleetera obuwanguzi.
Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone Owek Ssaalongo Robert Sserwanga, asabye Abavubuka okubeera ekitundu ku kuzzaawo essuubi lya Buganda, olwo Obwakabaka budde ku ddaala eddala.
Ssentebe w'Olukiiko olutegese Ensisinkano eno Dr Aiden Micheal Ssettabi, asabye Abavubuka abaliko Obukugu obwenjawulo okulowooza ku Bwakabaka Obulina abakugu ab'engeri zonna.
Ssentebe w'Abavubuka mu Bwakabaka Baker Ssejjengo, asabye Abavubuka mu Bwakabaka okukulembeza Okwagala n'Obwesigwa mu bye bakola olwo ebirala bibagoberere.
Ensisinkano yetabiddwamu abanene ab’enjawulo, omuli:
- Ssenkulu wa Kabaka Foundation, Omuk. Edward Kaggwa Ndagala
- Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone, Owek. Ssaalongo Robert Sserwanga
- Dr. Aiden Micheal Ssettabi, Ssentebe w’olukiiko olutegeka ensisinkano
- Abalala okuli Owek. Rev. Elijah Kyobe, Owek. Harriet Namukasa, Owek. Ann Namayanja Kigudde, Owek. Ivan Mukasa ne munnamateeka wa cbs Vivian Namale.
Zino ze zimu ku nteekateeka z'okunnyikiza obuweereza n'obukulembeze bw'abavubuka mu bwakabaka mu buufu bwa Ssaabasajja Kabaka obw'okuwa omulembe guno abavubuka.