Katikkiro nga ali naboluly'olulangira mu kusabira omugenzi Kezironi Mukasa
Katikkiro Mayiga asabye abantu ba Buganda okwewala enjawukana nti zino zizingamya enkulaakulana mu Maka
Katikkiro nga ali naboluly'olulangira mu kusabira omugenzi Kezironi Mukasa
Okusaba kuno Kamalabyonna akukoledde Kyaggwe ku kyalo Namina mu kusaba okw'okujjukira abagenzi Kezironi Mukasa ne Wycliffe Kasozi Mukasa.
Agambye nti okweyawulayawula kulemesa enju nnyingi okwezimba, era mu butakkaanya olwo kiba kizibu okumalawo ebibasomooza. Alagidde ab'enju ya Kezironi Mukasa babeere bumu, bayambagane, bawuliziganye, olwo bajja kusobola okuba aboomugaso nokusigala nga bakutte omumuli gw'abagenzi.
Akubirizza banna Kyaggwe obutawuddiisibwa na bigambo ebibanafuya nti abaana ba Gavumenti, wabula batwale obuvunaanyizibwa ng'abazadde bafeeyo eri abaana baabwe nga babawa ebikozesebwa ku ssomero omuli, ebitabo emmere, engatto, bakomye enjogera egamba nti abaana ba Gavumenti.
Kulw'Enju ya Kezironi Mukasa, Omuk. Hope Mukasa, asuubizza okusigala nga atambuza omumuli kitaawe gweyaleka akoleezezza naddala obutasuulirira Kika kye wamu n'okunyweza omukululo gw'okunyweza abantu kitaawe beyakwatako mu kukyuusa embeera zaabwe.
Ssaabadiikoni we Ngogwe, Venerable Canon Steven Kironde, nga yakulembeddemu okutendereza omutonzi mu kkanisa ye Kirijja-Butooke, abuuliridde abagoberezi ku kyokubeera aboomugaso mu maka, ku kyalo, ne mu ggwanga nga bakola ebyo ebigasa abalala.
Nnaalinnya Sarah Kagere ne bba Oweek Bbaale Mugera, beetabye ku mukolo guno.