Katikkiro nga ali mu Mawokota mu kwabya olumbe lw’omugenzi Catherine Nakyejwe Mulindwa
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, asabye abantu ba Buganda obuteekubagiza nebwebaba balina abaagalwa babwe ababavudde ku maaso kibayambe okugenda mu maaso.
Obubaka buno, Kamalalabyonna Mayiga abuweeredde Mawokota mu kwabya olumbe lw’omugenzi Catherine Nakyejwe Mulindwa, Nnyina wa Lawrence Mulindwa omutandisi w’essomero lya St. Mary’s Kitende ne tiimu ya Vipers
Owek.Mayiga ategeezezza nti Bajjajja ffe baamanya omugaso gwobuteekubagiza kagenderere olwo kwe ku ssaawo okwabya ennyimbe obulamu buddemu butambule nga tugenda mu maaso, era mu kaweefube w’okuzza Buganda ku ntikko tugaanira ddala abantu ba Buganda okwekubagiza kubanga mu kwekubagiza nekyosobola okukola kikulema.
Mu lumbe tufuna omusika era awo amaziga wegakoma, ne mu Buganda nga tulina Ssaabasajja Kabaka tewali kitukwasa ku ttama n’okukukkuluma kubanga omutanda mwali.
Omugenzi Catherine Nakyejwe Mulindwa, asikiddwa Margaret Nannono ate Noeline Luyiga naalondebwa okubeera Lubuga.
Katikkiro nga ali ne baana b’omugenzi wamu n’omusika
Omwami w’Essaza Mawokota, Kayima Sarah Nannono, aloopedde Katikkiro nti abaakoze omukolo gw’okussaako n’okusumikira omusika baagoberedde emitendera gyonna nga ennambika y’okwabya ennyimbe bwegamba.
Omutaka Muteesaasira Keeya Ttendo Namuyimba, alidde mu ttama n’asaba Katikkiro n’Obuganda bwonna okuvaayo okulwanyisa abo abagufudde omugano okutyoboola olulimi oluganda naddala abayimbi nga bakozesa ebigambo ebiwemula, nti bano ke kaseera okubakwasa omukono ogw’ekyuma.
Omukolo guno gwetabiddwako abantu abenjawulo okuva my Gavumenti ya Buganda awamu neya wakati.