
Ekifaananyi ky’omugenzi Katherine Kent, Omuzaana wa Kent.
Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Omuzaana w’Omulangira w’e Bungereza Edward I, nga ye Katherine Kent (Duchess of Kent), eyavudde mu bulamu bw’ensi ku myaka 92 egy’obukulu.
Katherine Kent – y’omu ku baali abasaale nga Buganda ne Uganda bafuna obwetwaze.
Ku lwa Buganda, Katikkiro Charles Peter Mayiga asaasidde nnyo Olulyo Olulangira olw’e Bungereza olw’okufiirwa okwo.
Omulangira Edward (Duke of Kent) ne mukyala we omugenzi Katherine Kent, Queen Elizabeth II beyatuma okubeerawo ng’abasaale nga Buganda ne Uganda ziddizibwa obwetwaze.
Baayanirizibwa Ssekabaka Edward Muteesa II nga 8 October 1962, Buganda lwe yaddizibwa ebyayo.
Enkeera nga 9 October 1962, Uganda nayo neefunira obwetwaze, olwo bendera ya Bungereza Union Jack newanulwa ku mirongooti egy’eggwanga ne wanikibwa ng’akabonero k’amefuga.