Katikkiro Charles Peter Mayiga, akedde kwolekera Bunyoro, gy’agenze okwongera okunyweza enkolagana wakati w’Obwakabaka bwa Buganda n’Obukama bwa Bunyoro.
Atuuse bulung, n’ayaniriziddwa Omuhikirwa, Owek. Andrew Byakutaaga, amututte obutereevu okusisinkana Omukama Solomon Gafabusa Iguru I, ate oluvannyuma n’asisinkanye Kkabineeti n’abakulembeze b’Obukama ne boogera ku nsonga ez’enjawulo.
Katikkiro asuubirwa okulambula enzizi z’amafuta e Buliisa, awamu n’enkulaakulana endala eri mu kitundu ekya Albertine, ng’awerekeddwako Omumyuka we Owookubiri, Baminisita n’abakungu abawerako.