katikkiro ngaayanirizibwa omusumba we Kasana Luwero Lawrence Mukasa
Bino abitadde mu kwogera kwe mu kusaba mmisa ey'amazuukira ga kristo e Kasana Luwero, ekulembeddwamu omusumba we Kasana Luwero Lawrence Mukasa, abuuliridde abagoberezi okwekwata Yesu bamukkirize ajja kubajjirawo emiziziko mu makubo gaabwe nga akozesa amaanyi ge ag'okuzuukira.
Agamba nti munnayuganda alina ebibuuzo bingi byalina okwebuuza ku nsaasaanya y'ensimbi mu Paalamenti; Kiki ekitubeeza ne Paalamenti erimu ababaka 539 mu nsi ey'abantu obukadde 44. Ekitegeeza nti buli bantu emitwalo munaana balina omubaka. Kyokka India erina abantu 1.4bn naye Paalamenti yaabwe erimu ababaka 630 ekitegeeza nti abantu obukadde 2.2m omubaka omu ekitegeeza nti ensasaanya yaabwe teri waggulu nnyo.
Era omuntu yebuuza nti amateeka agayisibwa Paalamenti geego getwetaaga okutujja mu bwavu okufuula Uganda ensi eyeyagaza.
Ategeezezza nti singa ababaka batunuulire ensonga ezo, okukaayana n'okugugulana mu Paalamenti kusobola okuggwawo olwo abantu nebafuna obuweereza obujjudde.
Asabye banna Bulemeezi beefumiitirize ku miramwa egyabadde mu bubaka bwa Kabaka obw'amazuukira, omuli, ogw'okulwanyisa mukenenya, okunywerera kwebyo byetukkiririzaamu, n'obwetoowaaze.
Kangaawo Ronald Mulondo aloopedde Katikkiro nga Bulemeezi bweriri erimu ku Masaza agasingamu okusasaana kwa kawuka ka mukenenya, wabula obuvunaanyizibwa abuzizza eri abasajja batwale eddimu ly'okutangira okusasaana kwa kawuka kano nga bataasa abaana abawala.
Ekitambiro kya mmisa kwetabiddwamu abaami ba Kabaka mu Ssaza Bulemeezi, bannabyabufuzi ne bannaddiini.