Katikkiro wamu n'abakungu abamuwerekeddeko
Katikkiro, Charles Peter Mayiga, alambudde ejjalulizo ly'ebirowoozo eby'enjawulo ebisobola okukyuusa obulamu bw'abantu n'ensi, erya Royal Science and Technology Park ne Songcondvongcondvo mu kibuga Phocweni.
Bano bawa omukisa naddala abavubuka abalina ebirowoozo eby'enjawulo, nga babifumbira mu kifo kino n'okubatendeka.
Agamba nti ebirowoozo bino bisobola okuvaamu ebintu ebipya, omuli ebya tekinologiya n'ebya mawulire. Era ensi nnyingi zirina ebifo eby'enkulakulana nga bino, mwebayitira okuwa abavubuka obusobozi okusinziira ku buyiiya bwabwe.
Ebifo bino byatandikibwawo King Mswati III ng’ayagala abavubuka babe bayiiya, era kijja kukyuusa obwakabaka bwa Eswatini mu bbanga ttono.
Katikkiro nga alambura
Agamba nti abavubuka abatikkirwa ku Buganda Royal Institute balina ebirowoozo bingi era beetaaga okuwagirwa, kubanga bino bisobola okuvaamu business ez’amaanyi ezisobola okuleetera ensi obugagga.
Era asabye ab’eku Buganda Royal Institute okutwala eby'okuyiga bino mu maaso, naddala nga babangula abavubuka.