donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Katikkiro alambudde Omutaka w'Ekika ky'Olugave

Katikkiro alambudde Omutaka w'Ekika ky'Olugave
Image

Omutaka Ndugwa asooke ku dyo ne Katikkiro, mu maka g'omutaka e Makindye

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga, alambudde ku mukulu w'Ekika ky'Olugave, Omutaka Ndugwa Ssemakula Grace, mu maka ge e Kibuye, Ggombolola ya Makindye Mut. III.

Mu lukuŋŋaana luno, Katikkiro yatenderezza emirimu egy’enjawulo Omutaka gy’akoledde Obwakabaka, naddala mu kaweefube w’okuzaawo Obwakabaka n’okuzza ebintu bya Buganda eby'enjawulo.

Katikkiro nga ayanirizibwa mu maka g'omutaka Ndugwa wamu n'Owek. Anthony Wamala

Katikkiro nga ayanirizibwa mu maka g'omutaka Ndugwa wamu n'Owek. Anthony Wamala

Omutaka Ssemakula Grace amaze ebbanga ng’alumbibwa obulwadde, era Owek. Mayiga yebazizza nnyo abamulabirira n’asabira Katonda okumukuuma.

Katikkiro yabadde awerekeddwa Minisita w’Obuwangwa n’Ennono, Owek. Dr. Anthony Wamala.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK