
Katikkiro, ku ddyo, ng’ali n’abakuumi b’Obwakabaka, Afande Orech Francis, mu ddwaaliro lya Medipal e Kololo, gye yamukyalidde olw’obulwadde
Katikkiro Charles Peter Mayiga alambudde ku Mukuumi mu ggye erikuuma Kabaka, Afande Orech Francis, mu ddwaliro lya Medipal e Kololo, gye yafunira obujjanjabi oluvannyuma lw’okulumbibwa ekirwadde ekitamuganya kussa bulungi olw’obulumi obuva mu kifuba.
Kamalabyonna yeebazizza abasawo abamujjanjjaba okulaba ng’awonya bulungi era addemu okuweereza Ssaabasajja Kabaka n’eggwanga lye.
Mukuumaddamula era yeebazizza Afande Orech olw’okukola obulungi emirimu gye, n’atabongoota, ekimusobozesezza okuganja eri abo b’awaweereza.