Katikkiro, Oweek. Charles Peter Mayiga asisinkanye abakulira kkampuni enkozi ya kaawa, eya Cascade Coffee, e Seattle, mu Amerika, mu kaweefube ow'okufuna bannamikago, abakwasizaako Obwakabaka ku nteekaterka ya mmwanyi terimba.
Katikkiro abadde ne Baminisita; Ababaka ba Kabaka: ow'e Seattle n'e Bungereza, n'abakungu okuva e Mengo, baaniriziddwa akulira kkampuni eno, Omw. Greg Thayer (muzungu mu kifaananyi), naabalambuza emirimu egy'enjawulo gye bakola.
Asiimye ebikolebwa n'agamba nti okubangawo enkolagana wakati kkampuni eno n'Obwakabaka, gujja kuba mukisa munene nnyo eri Buganda ne Uganda okutwalira awamu ogw'okutumbula ekirime ky'emmwanyi.
Greg Thayer, ku lwa Cascade Coffee, assuubizza okukolagana n'Obwakabaka okutumbula ekirime ky'emmwanyi.