Katikkiro nga alambula abayizi nga bali mu kusoma
Katikkiro alambudde ettendekero lya Buganda Royal Institute e Kakeeka Mmengo okwongera okwekenneenya entambuza y’emirimu naddala ebyo ebisomesebwa abayizi.
Alambudde ebibiina omusomerwa ebyemikono, omuli, olusiba enviiri, eby'amawulire, okufumba, okukanika, n'ebyokwewunda.
Okwogera kwe eri abakozi ku ttendekero lino, kwetolooledde ku kulaba nga ebigendererwa bya Ssaabasajja Kabaka eby'okutandikawo ettendekero lino bituukirira, naddala okubangula abavubuka mu by'emikono kko n'amasomo agayamba okukyusa embeera z'obulamu bw'abantu.
Abeebazizza olw'ebituukiddwako mu myaka 25 egyettendekero lino, akabonero akalaga nti wabaddewo okutambuza emirimu mu ngeri ennungamu, wabula tebakoma okwo bongere okwefumiitiriza ku Buganda Royal Institute bweribeera mu myaka 50 mu maaso.
Wano nga alambula abasoma okusiba enviri
Mu kulambula kuno, Katikkiro akulembeddemu Ssenkulu w'ettendekero lino, Oweek Joseph Balikuddembe Ssenkusu, Minisita w'ebyenjigiriza n'enkulaakulana y'Abantu, Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Ssenkulu wa Bicul omuk. Roland Ssebuufu, n'abajozi ku ttendekero lino.