Choose Language

Luganda English

  
donate

Choose Language

Luganda English

  
donate

Katikkiro alambudde ekitongole ky’obwakabaka ekivunaanyizibwa ku nsonga z'ettaka — Buganda Land Board

Katikkiro alambudde ekitongole ky’obwakabaka ekivunaanyizibwa ku nsonga z'ettaka — Buganda Land Board
Image

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng’ali n’abakulu b’ekitongole kya Buganda Land Board

Mu kaweefube w’okulambula abakozi mu bitongole by’Obwakabaka eby’enjawulo, leero Kamalabyonna Charles Peter Mayiga alambudde ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka — Buganda Land Board, ekisangibwa mu maka gaakyo amatongole ku kizimbe Masengere.

Asoose kusisinkana bboodi n’abakulira entambuza y’emirimu mu kitongole kino, oluvannyuma n’asisinkana abakozi bonna n’abasomesa n’okwogerako gyebali. Bwabadde alambula, akulembeddwamu Ssenkulu Simon Kaboggoza.

Asinzidde eno n'akubiriza abantu okujjumbira enteekateeka y'okwewandiisa ku ttaka okulaba nga bawona okugobwa entakera. Ayongeddeko n'abasaba okufuna liizi, n'ab'obusuulu okusasula okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe era basseewo enkolagana ennungi ne nannyini ttaka.

Katikkiro ng'ayogerako eri abakozi ba Buganda Land Board

Katikkiro ng'ayogerako eri abakozi ba Buganda Land Board

Kamalabyonna ayozayozezza ekitongole kino okuweza emyaka 30 bukya kitandikibwawo, era n'asaba abakozi okukola n’obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, n’okwagala.

Obubaka bwe abwesigamizza ku nsonga ssemasonga ey'okusatu ey'okukuuma ettaka n'ensalo za Buganda, n’ategeeza nti ettaka lya nkizo mu nnono za Buganda kubanga obutaka bw'Ebika buli ku butaka era ekika gyekisinziira okumaakuma bazzukulu baakyo. N'olwekyo, omulimu aba Buganda Land Board gwebaliko mukulu nnyo.

Mu kwagala okuwa obuweereza obulungi eri abantu, Katikkiro asabye abali mu matabi ag'enjawulo bakwate bulungi abantu, ba baanukule nga waliwo ensonga gyebaagala okumanya, bakomye okwemulugunya kubanga eyo y'ensonga eyateesaawo amatabi mu bitundu ga gonjoole ensonga eziteetaagisa bantu kujja ku Masengere.

Mu buwufu obwo abakuutidde bamanyigane n'abakozi b'e bitongole by'obwakabaka abalala, era bakuume ekitiibwa ky'obwakabaka baleme kweyisa nga ba ddikuula, bakole nga tiimu kubanga buli muntu wa mugaso mu buweereza bwalimu.

Oweek. Daudi Mpanga ng'ayogerako eri abakozi abakozi ba Buganda Land Board

Oweek. Daudi Mpanga ng'ayogerako eri abakozi abakozi ba Buganda Land Board

Minisita w'Ettaka n'ebizimbe. Oweek. Daudi Mpanga asabye abakozi okunyiriza ekifaananyi n'endabika y'ekitongole ne wankubadde waliyo ebisomooza kiri eri bbo okutwala obuvunaanyizibwa okwanganga munnaabwe akola ebintu ebyonoonya erinnya ly’ekitongole.

Minisita w'Olukiiko Kabineeti n'ensonga za Woofiisi ya Katikkiro Oweek. Noah Kiyimba, Oweek. Ritah Namyalo, memba wa bboodi, nabo bawerekeddeko Katikkiro.

Buganda UK

BugandaUK is your home for all news, events and information about the Buganda community in the UK