Katikkiro nga ali nebasenkulu be bitongole by'obwakabaka
Katikkiro alambudde ebitongole by'Obwakabaka ebikakkalabiza emirimu gyabyo ku Bulange, kuliko ekya, BUCADEF, Majestic brands, ne Bicul.
Abadde wamu n'omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, Minisita w'Amawulire Okukunga era Omwogezi w'Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, Minisita w'Obulimi, Obulunzi n'obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo, ne Ssentebe wamu ne Bboodi ya BUCADEF.
Wano nga ali mu kitongole kya Majestic Brands
Obuyiiya, obunyiikivu, obwerufu, okukola nokwagala, zezimu ku nsonga Katikkiro zakubirizza abakozi okunyweza kubanga Buganda okudda ku ntikko, nga ebitongole by'Obwakabaka bitambula bigenda mu maaso.