Okulaba omulimu gw'okugaddaabiriza wegutuuse.
Agamba nti omulimu ogusigadde gwa kuyoyoota n'okuwunda munda.
Oluggya wabweru lukolebwako era agamba nti lwakusigala mu kifaananyi nga bwerwabeeranga ku mirembe Emiteesa 1, nga lwamayinja.
Olukomera olwomunda nalwo lukomolwa olw'ennono y'ekifo, n'ennyumba enkulu zirina okumalirizibwa.
Katikkiro agamba nti omulimu wegutuuse mukulu nnyo, kubanga kye kifaananyi buli muntu anaatuukako mu Masiro kyalina okulaba, olwo ekitiibwa kya Buganda kisobole okulabikira ddala e Kasubi.