Olunaku alutandikidde mu Park ya Taxi mu town ye Sembabule, gyavudde naayolekera ekyalo Kasaana ku ssomero lya Kasaana, bwavudde eyo naagenda mu nnimiro y'omulimi w'emmwanyi, Salongo Bernard Lwanga Kafeero, oluvannyuma akubye olukungaana olwawamu ku ssomero lya St. Peter mu Town Council ye Mateete.
Obubaka bwe butambulidde ku miramwa egyatandikisaawo kaweefube w'emmwanyi terimba, omuli.
▪︎ Obwegassi, mwe muli amaanyi.
▪︎ Abalimi Beemanyiize okufukirira oba oli asima luzzi oba alembeka malembeke nokuyiga okulimisa tractor.
▪︎ Okwagala abavubuka n'Abakyala okwettanira okulima emmwanyi, emmwanyi efuna okusinga boda boda.
▪︎ Okukubiriza abantu okunywa kaawa.
Oluvannyuma atongozza ekiwandiiko ekiriko emitendera 16 omulimi w'emmwanyi gyayina okuyitamu afune shs akakde kamu (1m) buli mwezi mu yiika emu ey'emmwanyi. Akwasizza abalimisa b'obwakabaka ab'amasaza gonna pikipiki 18 bagende batuuse ku balimi enjiri ekwata ku mmwanyi.
Aba Mateete Sacco bawaddeyo obukadde butaano (5) obw'oluwalo.
Omwana Nakayemba Fazira awaddeyo omutwalo gumu (10k) ogw'oluwalo.
