
Wano nga ayanirizibwa Omwami w’essaza Kyaggwe
Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga, alambudde abalimi b’emmwanyi mu Ssaza Kyaggwe ng’ayikiza kaweefube w’okulima emmwanyi okulwanyisa obwavu mu maka g’abantu.
Kaweefube ono amutandikidde mu ggombolola y’omumyuka e Nakifuma, ku kyalo Ddiikwe, awasangidde omu ku balimi, Kimuli Eddy, ow’emyaka 35, alimira ku ttaka lya yiika 90. Alima ebirime eby’enjawulo okuli emmwanyi, ebitooke, ebikajjo, kasooli n’emmere ey’okulya.
Mu lugendo luno, Katikkiro awerekeddwako Minisita wa Buganda w’Obulimi, Obulunzi, Obuvubi n’Obwegassi, Owek. Hajji Amis Kakomo; Minisita wa Buganda w’Amawulire, Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke; Ssentebe wa bboodi ya BUCADEF, Omuk. Dr. Ben Ssekamatte; Ssenkulu wa BUCADEF, Bakyusa Alfred; Ssekiboobo w’essaza ne Bamyuka be.

Katikkiro nga atongoza enteekateeka y’okugaba emizinga gy’enjuki
Katikkiro atongozza enteekateeka y’okugaba emizinga gy’enjuki okuganyula abalimi n’okuwakisa emmwanyi. Asinzidde ku byalo Ddiikwe ne Makukuba, n’akwasa abalimi emizinga gino mu bitundu ebyo.
Mu buufu bwe bumu, alangiridde kaweefube w’okusimba emiti emituba mu nnimiro z’emmwanyi, giyambeko ku kisiikirize, okuliikiriza emmwanyi, okuggumiza n’okulongoosa ennimiro.