Katikkiro nga ayogerako eri abantu
Agamba nti okumanya abaana b'omugenzi abalala abatali mu maka ago, okumanya oba abaana bonna bava mu ntumbwe z'omugenzi oyo, n'okulaba nga olumbe luyita mu mitendera emituufu okutuuka okwabizibwa.
Katikkiro okulambika kuno akukoledde Kiganda Ssingo ku kyalo Ggumbya mu kwabya olumbe lwa Ssali Edward kitaawe wa Oweek Joseph Kawuki n'omukungu Charles Ssali kati omugenzi.
Wano wasinzidde n'avumirira abo abaagala okulagirawo omusika nti abo tebaagala kutegana kubanga okutambuza n'okulondoola ennono y'okwabya olumbe bikooya naye byetaagamu obugumiikiriza.
Yebazizza ab'enju y'omugenzi Edward Ssali olwokutambuza olumbe mu nnono entuufu.
Oweek Joseph Kawuki yasikidde kitaawe Ssali Edward.