Katikkiro Charles Mayiga akakasa nti emikolo gy’okwanjula gya buwangwa na nnono egyongera okunyweza Ebika n’obuwangwa bwaffe.
Asabye abazadde obutagiteekamu nsimbi oba okugezza okugifuula amasanyu ag’okufuna eby’okulya n’obugagga obususse, nga basobola okulemesa abaana okuwasa oba okufumbirwa mu ngeri entuufu.
Bino abyogeredde e Kiteezi ku mukolo Proscovia Nakawuka, muwala wa Munnamateeka Francis Buwuule, kw’ayanjulidde omusajja we Dennis Kaweesi.
Katikkiro yebazizza abalungamizza omukolo guno olw'okukuuma ekitiibwa kyagwo era asinzidde wano naddamu okuvumirira abeekola obusolosolo ku mikolo ng'agamba nti kikulu nnyo okukuuma ekitiibwa n’okusanyusa abantu abazze ku mukolo kyokka tekirina kukolebwa mu ngeri ey'esittaza.
Katikkiro Charles Peter Mayiga n’omukyala we, Omumyuka owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa n’omukyala we, wamu n’abaweereza b'Obwakabaka ku mitendera egy'enjawulo, beetabye ku mukolo gw’okwanjula gwa Proscovia Nakawuka muwala wa Munnamateeka Francis Buwuule, e Kiteezi.